Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeyongere Okwesiga Ebyo Ebiri mu Kigambo kya Katonda

Weeyongere Okwesiga Ebyo Ebiri mu Kigambo kya Katonda

Ekigambo kya Katonda kisobola okukyusa obulamu bwaffe. (Beb 4:12) Kyokka okusobola okuganyulwa mu magezi n’obulagirizi ebikirimu, tulina okuba abakakafu nti ddala ‘kigambo kya Katonda.’ (1Se 2:13) Tuyinza tutya okweyongera okwesiga ebyo ebiri mu Bayibuli?

Soma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. Bw’oba okisoma, weetegereze obukakafu obulaga nti Yakuwa ye yakiwandiisa. Ng’ekyokulabirako, weetegereze okubuulirira n’amagezi ebiri mu kitabo ky’Engero era olabe engeri gye bituyambamu mu bulamu.​—Nge 13:20; 14:30.

Noonyereza. Manya obukakafu obulaga nti ddala Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Kozesa Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, wansi w’omutwe, “Bayibuli” ne “Yaluŋŋamizibwa Katonda.” Ate era osobola okweyongera okulaba obukakafu obulaga nti ddala obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyuka nga weekeneenya Ebyongerezeddwako A3 mu Enkyusa ey’Ensi Empya.

MULABE VIDIYO, ENSONGA LWAKI .  .  . TUKKIRIRIZA MU KIGAMBO KYA KATONDA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO WAMMANGA:

  • Ebyo ebyazuulibwa ku kisenge kya yeekaalu ye Karnak mu Misiri, bikakasa bitya nti ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda bituufu?

  • Tumanyira ku ki nti ebyo ebiri mu Bayibuli tebyakyusibwamu?

  • Okuba nti Bayibuli weeri n’okutuusa leero, kikukakasa kitya nti Kigambo kya Katonda?​—Soma Isaaya 40:8