Jjanwali 2-8
2 BASSEKABAKA 22-23
Oluyimba 28 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Lwaki Tusaanidde Okuba Abeetoowaze?”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
2Sk 23:24, 25—Ekyokulabirako kya Yosiya kizzaamu kitya amaanyi abo abaakulira mu mbeera ezitaali nnyangu? (w01-E 4/15 lup. 26 ¶3-4)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 2Sk 23:16-25 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Omulundi Ogusooka: Okusaba—Zb 65:2. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma otandike okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa essomo 01 mu brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (th essomo 16)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oli Mwetoowaze oba Oli wa Malala? (Yak 4:6): (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Njawulo ki eriwo wakati w’okuba omwetoowaze n’okuba ow’amalala? Kiki kye tuyigira ku Musa? Lwaki oli mumalirivu okusigala ng’oli mwetoowaze?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 33
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 23 n’Okusaba