OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weeteekereteekere Kati Embeera Eyinza Okukwetaagisa Okufuna Obujjanjabi obw’Amangu
Lwaki osaanidde okweteekateeka? Kiyinza okukwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amangu oba okuweebwa ekitanda mu kiseera ky’otosuubira. N’olwekyo ng’embeera ng’eyo tennajjawo, kikulu okweteekateeka ng’okozesa ebyo ebituweereddwa ekibiina kya Yakuwa okutuyamba okufuna obujjanjabi obusingayo obulungi. Bw’okola bw’otyo kiba kiraga nti owa obulamu ekitiibwa era nti ogondera etteeka lya Yakuwa erikwata ku musaayi.—Bik 15:28, 29.
By’osaanidde okukola okusobola okweteekateeka.
-
Saba Yakuwa era oluvannyuma ojjuzeemu n’obwegendereza kkaadi eyitibwa DPA (durable power of attorney). a Ababuulizi ababatize basobola okufuna kkaadi ezo okuva eri ow’oluganda akola ku bitabo, era basobola n’okufunira abaana baabwe abatannaweza myaka 18 kkaadi y’abaana eyitibwa Identity Card (ic)
-
Bw’oba ng’oli lubuto, saba abakadde bakuwe ekiwandiiko ekiyitibwa Information for Expectant Mothers (S-401) ekirimu obulagirizi obuyamba abakyala abali embuto. Obulagirizi obuli mu kiwandiiko ekyo bujja kukuyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku bujjanjabi bw’oyinza okwetaaga mu kiseera kino ng’oli lubuto oba ng’ozaala
-
Bwe kiba nti kikwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amaanyi obuyinza okuzingiramu okukozesa omusaayi oba obuyinza okukwetaagisa okuweebwa ekitanda, tegeeza abakadde nga bukyali era tegeeza ab’eddwaliro nti waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abajja okukulaba
Abakadde bayinza kukuyamba batya? Bayinza okukuyamba okujjuzaamu kkaadi ya DPA. Kyokka abakadde tebajja kukusalirawo ku bikwata ku bujjanjabi bw’ojja okwetaaga okufuna oba okukuwa endowooza yaabwe ku nsonga buli muntu zaalina okwesalirawo kinnoomu. (Bar 14:12; Bag 6:5) Bw’otegeeza abakadde nti weetaaga obujjanjabi obuyinza okuzingiramu okukozesa omusaayi, mu bwangu ddala bajja kutegeeza ab’oluganda abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro (HLC).
Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro (HLC), kayinza kukuyamba katya? Ab’oluganda abaweereza ku kakiiko ako baatendekebwa okuyamba abasawo n’abo abakola ku by’amateeka okutegeera ennyimirira y’Abajulirwa ba Yakuwa ku musaayi. Bayinza okwogerako n’abasawo bo ku nzijanjaba ze bayinza okukuwa mu kifo ky’okukuteekako omusaayi. Bwe kiba kyetaagisa, bayinza okukufunira omusawo ayinza okukujjanjaba nga takutaddeeko musaayi.
MULABE VIDIYO OKUSALAWO OBULUNGI KU BUJJANJABI OBUZINGIRAMU OKUKOZESA OMUSAAYI, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Kiki ky’oyize mu vidiyo eno ekinaakuyamba okweteekerateekera obujjanjabi obw’amangu obuyinza okuzingiramu okukozesa omusaayi?
a Essomo 39 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! lisobola okukuyamba okusalawo ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi.