Jjanwali 30–Febwali 5
1 EBYOMUMIREMBE 7-9
Oluyimba 84 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Asobola Okukuyamba Okutuukiriza Obuvunaanyizibwa Obutali Bwangu”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1By 9:33—Ebiri mu lunyiriri luno bituyamba bitya okutegeera obukulu bw’okuyimba mu kusinza okw’amazima? (w10 12/15 lup. 21 ¶6)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1By 7:1-13 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma omuwe kaadi eragirira abantu ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. (th essomo 16)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 20)
Okwogera: (Ddak. 5) w21.06 lup. 3-4 ¶3-8—Omutwe: Yamba Omuyizi Wo Okukolera ku Ebyo by’Ayiga. (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Yakuwa Atuyamba Nga Twolekagana n’Ebizibu”: (Ddak. 15) Okulaba vidiyo n’okukubaganya ebirowoozo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 36
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 31 n’Okusaba