Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Atuyamba nga Twolekagana n’Ebizibu

Yakuwa Atuyamba nga Twolekagana n’Ebizibu

Mu nnaku zino ez’enkomerero twolekagana n’ebizibu bingi eby’amaanyi. Oluusi tuyinza okuwulira nti ebizibu bitusukkiriddeko. Kyokka bwe tweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, atuyamba okugumira n’ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi. (Is 43:2, 4) Tuyinza tutya okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu?

Okusaba. Bwe tweyabiza Yakuwa, atuwa emirembe n’amaanyi ne tusobola okugumira ebizibu ebyo.​—Baf 4:6, 7; 1Se 5:17.

Enkuŋŋaana. Mu kiseera kino twetaaga nnyo emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu nkuŋŋaana era twetaaga nnyo n’okubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe. (Beb 10:24, 25) Bwe tweteekerateekera enkuŋŋaana, ne tuzibaamu, era ne tuzeenyigiramu, tuganyulwa mu bujjuvu mu buyambi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu.​—Kub 2:29.

Okubuulira. Kijja kutubeerera kyangu okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebirungi bwe tukola kyonna ekisoboka okusigala nga tuli banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Ate era kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa awamu ne bakozi bannaffe abalala.​—1Ko 3:5-10.

MULABE VIDIYO YAKUWA AJJA KUSEMBEZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki ekyayamba Malu okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa ng’ayolekagana n’ebizibu?

  • Okufaananako Malu, ebigambo ebiri mu Zabbuli 34:18 biyinza bitya okutuzzaamu amaanyi nga twolekagana n’ebizibu?

  • Ebyo Malu bye yayitamu biraga bitya nti Yakuwa atuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu?​—2Ko 4:7