EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Sigala ng’Oli Bulindaala
Okumala emyaka, Yakuwa yalabula abantu b’omu Yuda nti bwe bandyeyongedde okukola ebintu ebibi yandibavuddeko (2Sk 24:2, 3; w01 3/1 lup. 3 ¶2)
Yakuwa yakozesa Abababulooni okuzikiriza Yerusaalemi mu 607 E.E.T. (2Sk 25:8-10; w07 4/1 lup. 11 ¶10)
Yakuwa yawonyawo abo abaakolera ku kulabula kwe yawa (2Sk 25:11)
Okumala emyaka mingi, Yakuwa azze alabula abantu nti ajja kuzikiriza abo “abatatya Katonda.”—2Pe 3:7.
Weebuuze, ‘Nkozesa buli kakisa ke nfuna okuyamba abalala okukolera ku kulabula Katonda kw’atuwa?’—2Ti 4:2.