Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 26–Maaki 3

ZABBULI 11-15

Febwali 26–Maaki 3

Oluyimba 139 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Kuba Akafaananyi ng’Oli mu Nsi ya Katonda Empya ey’Emirembe

(Ddak. 10)

Ebikolwa eby’obukambwe ebiriwo leero bivudde ku kuba nti abantu tebagoberera mateeka na biragiro (Zb 11:​2, 3; w06 6/1 lup. 30 ¶4)

Tuli bakakafu nti Yakuwa anaatera okuggyawo ebikolwa eby’obukambwe (Zb 11:5; wp16.4 lup. 11)

Okufumiitiriza ku kisuubizo kya Yakuwa eky’okutulokola kisobola okutuyamba okumulindirira n’obugumiikiriza okutuusa lw’alitununula (Zb 13:​5, 6; w17.08 lup. 6 ¶15)

GEZAAKO KINO: Soma Ezeekyeri 34:​25, era okube akafaananyi ng’oli mu mbeera eyogerwako mu kyawandiikibwa ekyo.—kr-E lup. 236 ¶16.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 14:1—Abakristaayo bayinza batya okutwalirizibwa endowooza y’abantu aboogeddwako mu kyawandiikibwa ekyo? (w13 9/15 lup. 19 ¶12)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 2) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Muyite okujja ku kijjukizo. (lmd essomo 5 akatundu 3)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 1) NNYUMBA KU NNYUMBA. Muyite okujja ku kijjukizo. (lmd essomo 3 akatundu 4)

6. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu asiima akapapula ke tukozesa okuyita abantu ku kijjukizo k’omuwadde. (lmd essomo 7 akatundu 4)

7. Okufuula Abantu Abayigirizwa

(Ddak. 5) lff essomo 13 mu bufunze, okwejjukanya, ne eky’okukolako. Kozesa ekimu ku bitundu ebiri wansi w’omutwe “Laba Ebisingawo” okuyamba omuyizi wo okutegeera endowooza Katonda gy’alina ku madiini ag’obulimba. (th essomo 12)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 8

8. “Amagezi Gasinga eby’Okulwanyisa”

(Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo.

Ebikolwa eby’obukambwe byeyongedde nnyo mu nsi. Yakuwa akimanyi nti ebikolwa eby’obukambwe ebitutuusibwako n’ebyo bye tulaba, bisobola okutuleetera okweraliikirira ennyo. Ate era akimanyi nti twetaaga obukuumi. Emu ku ngeri Yakuwa gy’atukuumamu, kwe kukozesa Ekigambo kye Bayibuli.—Zb 12:​5-7.

Bayibuli erimu amagezi ‘agasinga eby’okulwanyisa.’ (Mub 9:18) Lowooza ku ngeri emisingi gya Bayibuli gino wammanga gye gisobola okutuyambamu obutakosebwa bikolwa eby’obukambwe.

  • Mub 4:​9, 10—Weewale okubeera wekka mu bifo eby’obulabe

  • Nge 22:3—Fuba okumanya ebyo ebikwetoolodde ng’oli mu bifo ebya lukale

  • Nge 26:17—Teweeyingiza mu nkaayana zitakukwatako

  • Nge 17:14—Bw’olaba ng’ebikolwa eby’obukambwe biyinza okugwaawo mu kifo, kiveemu. Weewale okubeera mu bantu abeekalakaasa

  • Luk 12:15—Tossa bulamu bwo mu kabi olw’okwagala okukuuma ebintu byo

Mulabe VIDIYO Koppa Abo Abaalina Okukkiriza, So Si Abo Abataalina Kukkiriza—Enoka, So Si Lameka. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

Ekyokulabirako kya Enoka kyakwata kitya ku ngeri taata omu gye yasalawo ne gye yeeyisaamu ng’ekitundu mw’abeera kirimu ebikolwa eby’obukambwe?—Beb 11:5

Mu mbeera ezimu, Omukristaayo ayinza okwagala okubaako ky’akolawo okwerwanako oba okulwanirira ebintu bye. Ekyo bwe kibaawo, Omukristaayo asaanidde okufuba okulaba nga tatta muntu yenna era nga tabaako musango gwa kuyiwa musaayi.—Zb 51:14; laba “Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 2017.

9. Kaweefube w’Okuyita Abantu ku Kijjukizo wa Kutandika ku Lwomukaaga, Maaki 2

(Ddak. 5) Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Babuulire enteekateeka ezikoleddwa ezikwata ku kwogera okw’enjawulo, ku mukolo gw’Ekijjukizo, era ne ku kugaba obupapula obuyita abantu. Jjukiza ababuulizi nti bayinza okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi gwa Maaki ne Apuli nga bawaayo essaawa 15.

10. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 6 ¶9-17

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 40 n’Okusaba