Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 19-25

ZABBULI 8-10

Febwali 19-25

Oluyimba 2 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Ai Yakuwa, Nnaakutenderezanga”!

(Ddak. 10)

Yakuwa yatuwa ebintu ebirungi bingi (Zb 8:​3-6; w21.08 lup. 3 ¶6)

Tutendereza Yakuwa nga tubuulira abalala ku bintu eby’ekitalo bye yakola (Zb 9:1; w20.05 lup. 23 ¶10)

Ate era tumutendereza nga tumuyimbira okuviira ddala ku mutima (Zb 9:2; w22.04 lup. 7 ¶13)

WEEBUUZE, ‘Ngeri ki endala gye nsobola okutenderezaamu Yakuwa?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 8:3—Omuwandiisi wa Zabbuli yali ategeeza ki bwe yayogera ku ngalo za Katonda? (it-1-E lup. 832)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Oyo gw’obuulira akugamba nti takkiririza mu Katonda. (lmd essomo 5 akatundu 4)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Oyo gwe wabuulira yakugamba nti takkiririza mu Katonda, naye ayagala okulaba obukakafu obulaga nti eriyo Omutonzi. (th essomo 7)

6. Okwogera

(Ddak. 5) w21.06 lup. 6-7 ¶15-18—Omutwe: Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okutendereza Yakuwa. (th essomo 10)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 10

7. Engeri y’Okubuulira Embagirawo ng’Olinga Anyumya

(Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo.

Emu ku ngeri gye tusobola okweyongera okutenderezaamu Yakuwa kwe kubuulira abo be tusisinkana nga tukola emirimu gyaffe egya bulijjo. (Zb 35:28) Mu kusooka, tuyinza okutya okubuulira embagirawo. Kyokka bwe tuyiga engeri gye tuyinza okutandika okwogera n’omuntu, n’engeri gye tuyinza okweyongera okwogera naye mu ngeri eya bulijjo, kisobola okutuyamba okuyiga okubuulira obulungi embagirawo, n’okunyumirwa okukikola!

Mulabe VIDIYO Beera Mwetegefu Okubuulira “Amawulire Amalungi ag’Emirembe”—Tolonzalonza Kubuulira. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

Kiki ky’oyize mu vidiyo eyo ekisobola okukuyamba okweyongera okubuulira obulungi embagirawo?

Bino wammanga bisobola okukuyamba okutandika okunyumya n’abantu:

  •   Buli lw’ova awaka, noonya akakisa k’osobola okukozesa okubuulira embagirawo. Saba Yakuwa akuyambe ofune omuntu asobola okuwuliriza

  •   Beera wa kisa eri abo b’osanga era kirage nti obafaako. Gezaako okubaako ne ky’omanya ku muntu, kikuyambe okumanya ensonga mu Bayibuli eyinza okumukwatako

  •   Gezaako okulaba obanga asobola okukuwa ennamba ye ey’essimu, naawe omuwe eyiyo, bwe kiba kituukirawo

  •   Toggwaamu maanyi singa oyo gw’oyogera naye akomya emboozi nga tonnamuwa bujulirwa

  •   Sigala ng’olowooza ku oyo gw’obuulidde. Weeyongere okukiraga nti omufaako ng’omuweereza linki emutwala ku lunyiriri olumu mu Bayibuli oba ku kitundu ekimu ku jw.org

Gezaako kino: Omuntu bw’akubuuza nti, ‘Wiikendi yabadde etya?,’ mubuulire ekimu ku ebyo bye wayize mu nkuŋŋaana, oba mubuulire ku mulimu gw’okola ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli.

8. Ebyetaago by’Ekibiina

(Ddak. 5)

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 65 n’Okusaba