Jjanwali 15-21
YOBU 36-37
Oluyimba 147 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Ensonga Lwaki Osobola Okwesiga Ekisuubizo kya Katonda eky’Obulamu Obutaggwaawo
(Ddak. 10)
Yakuwa abeerawo emirembe gyonna (Yob 36:26; w15 10/1 lup. 13 ¶1-2)
Yakuwa alina amagezi n’amaanyi okubeesaawo ebintu ebiramu (Yob 36:27, 28; w20.05 lup. 22 ¶6)
Yakuwa atuyigiriza engeri gye tuyinza okufunamu obulamu obutaggwaawo (Yob 36:4, 22; Yok 17:3)
Essuubi lye tulina mu kisuubizo kya Katonda eky’obulamu obutaggwaawo lituyamba okuguma nga twolekagana n’ebizibu.—Beb 6:19; w22.10 lup. 28 ¶16.
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Yob 37:20—Obubaka n’amawulire byatuukanga bitya ku bantu mu biseera eby’edda? (it-1-E lup. 492)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Yob 36:1-21 (th essomo 2)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. (lmd essomo 3 akatundu 3)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. (lmd essomo 2 akatundu 5)
6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu
(Ddak. 5) Okwogera. Ijwfq-E lup. 57 ¶5-15—Omutwe: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Baayigganyizibwa mu Kitta Bantu Ekyaliwo mu Biseera by’Abanazi? (th essomo 18)
Oluyimba 49
7. Weeteekereteekere Embeera Eziyinza Okukwetaagisa Okufuna Obujjanjabi oba Okulongoosebwa
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Kya kukubirizibwa mukadde.
Ekibiina kya Yakuwa kituwadde ebintu ebisobola okutuyamba okugondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. (Bik 15:28, 29) Okozesa bulungi ebintu ebyo?
Kkaadi y’Omusaayi (DPA) ne Kkaadi y’Abaana (ic): Kaadi zino ziraga ekyo omulwadde ky’aba asazeewo bwe kituuka ku nzijanjaba ezizingiramu okukozesa omusaayi. Ababuulizi ababatize basobola okufuna Kkaadi y’Omusaayi (DPA), ne Kkaadi y’Abaana ey’Omusaayi (ic), okuva eri ow’oluganda akola ku bitabo. Tusaanidde okubeera ne kkaadi eyo buli kiseera. Bw’oba nga weetaaga okujjuzaamu Kkaadi y’Omusaayi oba okukola enkyukakyuka mu eyo gy’olina, kikole mu bwangu.
Ekiwandiiko ekiyitibwa Information for Expectant Mothers (S-401) n’ekiyitibwa Information for Patients Requiring Surgery or Chemotherapy (S-407): Ebiwandiiko ebyo bituyamba okweteekerateekera obulungi obujjanjabi bwe tuba tugenda okufuna, nga mw’otwalidde n’ensonga ezikwata ku musaayi. Saba abakadde mu kibiina kyo bakuwe kopi y’ekiwandiiko kye weetaaga bw’oba ng’oli lubuto, ng’ogenda kulongoosebwa, oba ng’ogenda kutandika okufuna obujjanjabi bwa kkansa.
Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro (HLC): Akakiiko ako kaliko abakadde abatendekeddwa okunnyonnyola abasawo awamu n’ababuulizi ensonga ezikwata ku musaayi. Basobola okwogera n’omusawo wo ku nzijanjaba endala eziriwo ezisobola okukozesebwa n’otateekebwako musaayi. Bwe kiba kyetaagisa, basobola okukufunira omusawo asobola okukujjanjaba nga takozesezza musaayi. Abakadde abo beetegefu okukuyamba essaawa yonna, era ku lunaku lwonna. Bwe wajjawo embeera ekwetaagisa okuweebwa ekitanda, okulongoosebwa, oba okufuna obujjanjabi gamba ng’obwa kkansa, tegeeza abo abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro amangu ddala nga bwe kisoboka, wadde ng’olaba nti embeera eyinza obutazingiramu nsonga ezikwata ku kuteekebwako musaayi. Ekyo kikwata ne ku abo abali embuto. Bw’oba nga weetaaga obuyambi, saba omukadde akuwe essimu oba endagiriro y’ab’oluganda abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro.
Mulabe VIDIYO Ab’Oluganda Abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro Batuyamba Batya? Oluvannyuma obuuze abakuwuliriza ekibuuzo kino:
Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro bayinza batya okukuyamba ng’oli mu mbeera eyinza okukwetaagisa okufuna obujjanjabi, oba okulongoosebwa?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 4 ¶9-12, akasanduuko ku lupapula 35