Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjanwali 22-28

YOBU 38-39

Jjanwali 22-28

Oluyimba 11 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Owaayo Obudde Okwetegereza Ebitonde?

(Ddak. 10)

Oluvannyuma lw’okutonda ensi, Yakuwa yawaayo obudde okwetegereza ebyo bye yali akoze (Lub 1:​10, 12; Yob 38:​5, 6; w21.08 lup. 9 ¶7)

Bamalayika baawaayo obudde okwetegereza ebitonde bya Yakuwa (Yob 38:7; w20.08 lup. 14 ¶2)

Bwe tuwaayo obudde okwetegereza obutonde bwa Yakuwa n’okubusiima, kisobola okunyweza okukkiriza kwaffe (Yob 38:​32-35; w23.03 lup. 17 ¶8)

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Yob 38:​8-10—Ennyiriri zino zituyigiriza ki ku Yakuwa, Omuwi w’Amateeka? (it-2-E lup. 222)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 2) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Bw’oyogera n’omuntu n’okiraba nti tayagala kunyumya naawe, musiibule mu ngeri ey’ekisa. (lmd essomo 2 akatundu 3)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 5) NNYUMBA KU NNYUMBA. Lwe wasembayo okunyumya n’omuntu yakugamba nti yafiirwa omuntu we. (lmd essomo 9 akatundu 3)

6. Okwogera

(Ddak. 5) lmd ebyongerezeddwako A akatundu 1—Omutwe: Ebintu Ebiriwo mu Nsi n’Engeri Abantu gye Beeyisaamu Biraga nti Wanaatera Okubaawo Enkyukakyuka ey’Amaanyi. (th essomo 16)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 111

7. Okwetegereza Ebitonde Kituyamba Okujjukira Ensonga Enkulu

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Sitaani bwe yalumba Yobu, era n’abo abaali beeyita mikwano gye abasatu bwe baamwogerera ebigambo ebimalamu amaanyi, Yobu ebirowoozo yabimalira ku bizibu bye yali ayolekagana nabyo n’ebigambo bye baamwogerera.

Soma Yobu 37:14. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

Kiki Yobu kye yalina okukola okusobola okuddamu okuba omunywevu mu by’omwoyo?

Bwe tuba tuwulira ng’ebizibu bituyitiriddeko, okwetegereza ebitonde kisobola okutuyamba okukijjukira nti Yakuwa mukulu, era ne kituyamba okweyongera okwagala okuba abeesigwa gy’ali, n’okuba abakakafu nti asobola okutulabirira.—Mat 6:26.

Mulabe VIDIYO Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yobu—Ebisolo. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

Ebiri mu vidiyo eyo bikuyambye bitya okweyongera okwesiga Yakuwa?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 4 ¶13-20

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 54 n’Okusaba