Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjanwali 29–Febwali 4

YOBU 40-42

Jjanwali 29–Febwali 4

Oluyimba 124 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Bye Tuyigira ku Ebyo Ebyatuuka ku Yobu

(Ddak. 10)

Kijjukire nti ebyo by’omanyi bitono nnyo ku ebyo Yakuwa by’amanyi (Yob 42:​1-3; w10 10/15 lup. 3-4 ¶4-6)

Kkirizanga okuwabulwa okuva eri Yakuwa n’ekibiina kye (Yob 42:​5, 6; w17.06 lup. 25 ¶12)

Yakuwa awa emikisa abo abasigala nga beesigwa gy’ali nga boolekagana n’ebizibu (Yob 42:​10-12; Yak 5:11; w22.06 lup. 25 ¶17-18)

Yakuwa yawa Yobu emikisa olw’okusigala nga mwesigwa

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Yob 42:7—Ebyo abaali beeyita mikwano gya Yobu bye baayogera baabyogera ku ani, era ekyo kiyinza kitya okutuyamba okugumiikiriza bwe tuba tusekererwa? (it-2-E lup. 808)

  • Biki bye wayize mu kusoma kwa Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Gw’obuulira si mugoberezi wa Kristo. (lmd essomo 5 akatundu 3)

5. Okufuula Abantu Abayigirizwa

6. Okwogera

(Ddak. 4) lmd ebyongerezeddwako A akatundu 2—Omutwe: Ensi tejja kusaanawo. (th essomo 13)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 108

7. Yamba Abalala Okukimanya nti Yakuwa Abaagala

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Kitusanyusa nnyo okusinza Katonda ow’okwagala. (1Yo 4:​8, 16) Olw’okuba Yakuwa alina okwagala, kituleetera okwagala okufuuka mikwano gye. Ffenna abaweereza ba Yakuwa tuwulira nti Yakuwa atwagala.

Tufuba okukoppa Yakuwa nga tulaga okwagala abo be tubeera nabo awaka, bakkiriza bannaffe, n’abantu abalala. (Yob 6:14; 1Yo 4:11) Bwe tulaga abalala okwagala, kibayamba okumanya Yakuwa n’okumusemberera. Ku luuyi olulala bwe tutalaga balala kwagala, kiyinza okubazibuwalira okumanya nti Yakuwa abaagala.

Mulabe VIDIYO Twazuula Okwagala mu Kibiina kya Yakuwa. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

Kiki ky’oyigidde ku Lei Lei ne Mimi ku bukulu bw’okwoleka okwagala?

Kiki kye tusobola okukola okuyamba bakkiriza bannaffe okukiraba nti Yakuwa abaagala?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 126 n’Okusaba