Jjanwali 8-14
YOBU 34-35
Oluyimba 30 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Abantu Abalungi bwe Baba nga Bayisibwa mu Ngeri Etali ya Bwenkanya
(Ddak. 10)
Kijjukire nti Yakuwa si y’aleetawo obutali bwenkanya (Yob 34:10; wp19.1 lup. 8 ¶2)
Abantu ababi bayinza okulowooza nti tebalibonerezebwa olw’ebibi byabwe, naye Yakuwa abalaba (Yob 34:21-26; w17.04 lup. 10 ¶5)
Engeri esingayo obulungi ey’okuyambamu abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya kwe kubayigiriza ebikwata ku Yakuwa (Yob 35:9, 10; Mat 28:19, 20; w21.05 lup. 7 ¶19-20)
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Yob 35:7—Kiki Eriku kye yali ategeeza bwe yabuuza Yobu nti: “Kiki [Katonda] ky’akufunako?” (w17.04 lup. 29 ¶3)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Yob 35:1-16 (th essomo 10)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Tandika okumuyigiriza Bayibuli. (lmd essomo 10 akatundu 3)
5. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Laga omuntu alina abaana abato engeri gy’asobola okufunamu ebyo ebisobola okuyamba abazadde ku jw.org. (lmd essomo 1 akatundu 4)
6. Okufuula Abantu Abayigirizwa
(Ddak. 5) lff essomo 13 akatundu 5 (lmd essomo 11 akatundu 3)
Oluyimba 58
7. Oyagala ‘Okubuulira Ekigambo’ Embagirawo?
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Buuliranga ekigambo; kibuulire n’obunyiikivu.” (2Ti 4:2) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nti, “kibuulire n’obunyiikivu,” ebiseera ebimu kyakozesebwanga ku musirikale oba omukuumi ali ku mulimu gwe eyabanga omwetegefu okwaŋŋanga omulabe. Ebigambo ebyo biraga nti bwe tuba tunyumya n’abantu, tulina okukozesanga akakisa konna ke tufuna okubawa obujulirwa.
Okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’okusiima ebyo by’atukolera, bituleetera okubuulira abalala ku ngeri ze ennungi.
Soma Zabbuli 71:8. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
Birungi ki ebikwata ku Yakuwa bye wandyagadde okubuulirako abalala?
Okwagala kwe tulina eri abantu kutuleetera okubuulira embagirawo.
Mulabe VIDIYO Engeri Abantu Bangi Gye Baazuulamu Amazima Agali mu Bayibuli. Oluvannyuma buuza abawuliriza:
-
Okubuulira embagirawo kyayamba kitya abantu abawerako okuzuula amazima agali mu Bayibuli?
-
Abantu abo baaganyulwa batya bwe baayiga amazima?
-
Okwagala kwe tulina eri abantu kutuyamba kutya okubuulira embagirawo?
-
Lwaki olowooza nti okubuulira embagirawo ngeri nnungi ey’okuyambamu abantu okumanya ebikwata ku Yakuwa?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 4 akasanduuko ku lupapula 37