Febwali 24–Maaki 2
ENGERO 2
Oluyimba 35 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Lwaki Wandifubye Okwesomesa?
(Ddak. 10)
Kiraga nti amazima ogatwala nga ga muwendo (Nge 2:3, 4; w22.08 lup. 18 ¶16)
Kikuyamba okusalawo obulungi (Nge 2:5-7; w22.10 lup. 19 ¶3-4)
Kikuyamba okunyweza okukkiriza kwo (Nge 2:11, 12; w16.09 lup. 23 ¶2-3)
WEEBUUZE, ‘Nnyinza ntya okulongoosa mu nteekateeka yange ey’okwesomesa?’
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Nge 2:7—Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘engabo y’abo abatambulira mu bugolokofu’? (it-1-E lup. 1211 ¶4)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Nge 2:1-22 (th essomo 12)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Laga omuntu engeri gy’ayinza okuzuula ebiyinza okuyamba abafumbo ku jw.org. (lmd essomo 1 akatundu 3)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Wa omuntu magazini eyogera ku nsonga gye yali ayagala okumanya. (lmd essomo 9 akatundu 3)
6. Okwogera
(Ddak. 5) lmd ebyongerezeddwako A akatundu 8—Omutwe: Omwami n’Omukyala Buli Omu Asaanidde Okuba Omwesigwa eri Munne. (th essomo 13)
Oluyimba 96
7. Wandyagadde Okunoonya eky’Obugagga Ekyakwekebwa?
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Abavubuka, mwagala okunoonya eky’obugagga ekyakwekebwa? Bwe kiba kityo, Bayibuli ebakubiriza okunoonya eky’obugagga ekisingayo okuba eky’omuwendo mu nsi yonna, nga kwe kumanya okukwata ku Katonda! (Nge 2:4, 5) Osobola okuzuula eky’obugagga ekyo, ng’owaayo obudde okusoma Bayibuli obutayosa era ng’onoonyereza ku ebyo by’oba osomye. Bw’okola bw’otyo, ojja kunyumirwa by’osoma era ojja kubiganyulwamu!
Bibuuzo ki by’oyinza okwebuuza ng’osoma Bayibuli? (w24.02 lup. 32 ¶2-3)
Biki ebisobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo?
Vidiyo ez’omuddiriŋŋanwa ezirina omutwe Yigira ku Mikwano gya Yakuwa, zisobola okukuyamba okuyiga okufumiitiriza ku ebyo by’osoma mu Bayibuli.
Mulabe VIDIYO Yigira ku Mikwano gya Yakuwa—Abbeeri.
Soma Olubereberye 4:2-4 ne Abebbulaniya 11:4. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
Abbeeri yakiraga atya nti mukwano gwa Yakuwa?
Abbeeri yanyweza atya okukkiriza kwe?
Oyinza otya okunyweza okukkiriza kwo?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 23 ¶1-8 n’ennyanjula y’ekitundu 8