Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 3-9

ZABBULI 144-146

Febwali 3-9

Oluyimba 145 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Abantu Abalina Yakuwa nga Ye Katonda Waabwe, Balina Essanyu!”

(Ddak. 10)

Yakuwa awa emikisa abo abamwesiga (Zb 144:​11-15; w18.04 lup. 32 ¶3-4)

Tuli basanyufu olw’essuubi lye tulina (Zb 146:5; w22.10 lup. 28 ¶16-17)

Abantu abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe bajja kuba basanyufu emirembe gyonna (Zb 146:10; w18.01 lup. 26 ¶19-20)

Bwe tuba nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa tusobola okuba abasanyufu wadde nga twolekagana n’ebizibu

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 145:​15, 16—Ekyawandiikibwa ekyo kyandituleetedde kuyisa tutya ebisolo? (it-1-E lup. 111 ¶9)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu akugamba nti muyizi wa yunivasite. (lmd essomo 1 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mulage emu ku vidiyo eziri mu Bye Tukozesa Okuyigiriza. (lmd essomo 7 akatundu 4)

6. Okwogera

(Ddak. 4) lmd ebyongerezeddwako A akatundu 7—Omutwe: Omukazi Asaanidde Okussaamu Ennyo Omwami We Ekitiibwa. (th essomo 1)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 59

7. Yakuwa Ayagala Obeere Musanyufu

(Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo.

Yakuwa Katonda musanyufu. (1Ti 1:11) Atuwadde ebintu ebirungi bingi ebiraga nti atwagala era nti ayagala tube basanyufu. (Mub 3:​12, 13) Ka twetegerezeeyo ebintu bibiri. Emmere n’amaloboozi.

Mulabe VIDIYO Ebitonde Biraga nti Yakuwa Ayagala Tube Basanyufu—Emmere Ewooma n’Amaloboozi Amalungi. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

  • Emmere n’amaloboozi bikuleetera bitya okuba omukakafu nti Yakuwa ayagala obeere musanyufu?

Soma Zabbuli 32:8. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

  • Okukimanya nti Yakuwa ayagala obeere musanyufu kikuleetera kitya okwagala okukolera ku bulagirizi bw’atuwa okuyitira mu Bayibuli ne mu kibiina kye?

8. Ebyetaago by’Ekibiina

(Ddak. 5)

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 22 ¶1-6

Okufundikira (Ddak. 3.) | Oluyimba 85 n’Okusaba