Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjanwali 6-12

ZABBULI 127-134

Jjanwali 6-12

Oluyimba 134 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Abazadde—Mweyongere Okulabirira Obusika Bwammwe obw’Omuwendo

(Ddak. 10)

Abazadde basobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubayamba okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe (Zb 127:​1, 2)

Abaana kirabo kya muwendo okuva eri Yakuwa (Zb 127:3; w21.08 lup. 5 ¶9)

Buli mwana mumuyigirize okusinziira ku byetaago bye (Zb 127:4; w19.12 lup. 27 ¶20)

Yakuwa asanyuka nnyo abazadde bwe bamwesiga era ne bakola kyonna kye basobola okulabirira abaana baabwe

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 128:3—Lwaki omuwandiisi wa zabbuli yageraageranya abaana ku ndokwa z’omuzeyituuni? (it-1-E lup. 543)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. (lmd essomo 1 akatundu 3)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Ekyo omuntu ky’akkiririzaamu kikontana n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. (lmd essomo 5 akatundu 4)

6. Okufuula Abantu Abayigirizwa

(Ddak. 5) lff essomo 16 akatundu 4-5. Buulira omuyizi wo ku nteekateeka gy’okoze, asobole okusoma nga toliiwo. (lmd essomo 10 akatundu 4)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 13

7. Abazadde—Mukozesa Engeri Esingayo Obulungi Okuyigiriza Abaana Bammwe?

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebintu bingi okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Yakuwa. Kyokka, emu ku ngeri esingayo obulungi ey’okuyigirizaamu abaana bammwe kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi.—Ma 6:​5-9.

Yesu yayigiriza abayigirizwa be ng’abateerawo ekyokulabirako ekirungi.

Soma Yokaana 13:​13-15. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Olowooza lwaki Yesu okuteerawo abayigirizwa be ekyokulabirako ekirungi, yali ngeri nnungi ey’okubayigirizaamu?

Abazadde, abaana bammwe basobola okukiraba nti ebyo bye mubayigiriza bya muganyulo singa mubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Ate era, ekyo kisobola okubaleetera okussaayo omwoyo ku bye mubayigiriza n’okubikolerako.

Mulabe VIDIYO Okuyigiriza Abaana Baffe nga Tubateerawo Ekyokulabirako. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Bintu ki ebikulu ow’oluganda ne mwannyinaffe Garcia bye baayigiriza bawala baabwe?

  • Ebyo ebiri mu vidiyo eyo bikuleetedde bitya okwagala okweyongera okuteerawo abaana bo ekyokulabirako ekirungi?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 20 ¶13-20

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 73 n’Okusaba