Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjulaayi 16-22

LUKKA 10-11

Jjulaayi 16-22
  • Oluyimba 100 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Olugero lw’Omusamaliya Omulungi”: (Ddak. 10)

    • Luk 10:29-32​—Kabona n’Omuleevi tebaayamba Muyudaaya munnaabwe eyali agudde mu banyazi [Mulabe vidiyo eraga ebiri mu Luk 10:30, “Oluguudo Oluva e Yerusaalemi Okugenda e Yeriko”, nwtsty.] (w02 9/1 lup. 25 ¶14-15)

    • Luk 10:33-35​—Omusamaliya yalaga omusajja oyo okwagala kungi (“Omusamaliya,” “n’afuka amafuta n’omwenge ku biwundu bye era n’abisiba,” “mu nnyumba omusula abatambuze” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 10:33, 34, nwtsty)

    • Luk 10:36, 37​—Tusaanidde okulaga abantu bonna okwagala, so si abo bokka ab’eggwanga lyaffe, oba ab’ekika kyaffe (w98 7/1 lup. 31 ¶2)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Luk 10:18​—Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba abayigirizwa be 70 nti: “Ndaba Sitaani ng’agudde nga laddu okuva mu ggulu”? (“Ndaba Sitaani ng’agudde nga laddu okuva mu ggulu” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 10:18, nwtsty; w08 3/15 lup. 31-32 ¶12)

    • Luk 11:5-9​—Ekyokulabirako kino kituyigiriza ki ku kusaba? (“Mukwano gwange, mpolaayo emigaati esatu,” “Lekera awo okuntawaanya,” “takooye kumusaba” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 11:5-9, nwtsty)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Luk 10:1-16

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe.

  • Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Omuntu akugamba nti omusanze akyalya.

  • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO