Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Lwaki Kikulu Nnyo Obutabaako Ludda Lwe Tuwagira mu by’Obufuzi? (Mik 4:2)

Lwaki Kikulu Nnyo Obutabaako Ludda Lwe Tuwagira mu by’Obufuzi? (Mik 4:2)

Olugero olukwata ku Musamaliya omulungi lutujjukiza nti Yakuwa tasosola, era ayagala tukolere bonna ebirungi nga mw’otwalidde n’abantu ab’amawanga ag’enjawulo, abali mu mbeera ez’enjawulo, n’amadiini ag’enjawulo.​—Bag 6:10; Bik 10:34.

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, LWAKI KIKULU NNYO OBUTABAAKO LUDDA LWE TUWAGIRA MU BY’OBUFUZI? (MI 4:2), OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ebiri mu Mikka 4:2 bituukiriziddwa bitya ku bantu ba Katonda leero?

  • Kitegeeza ki obutabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, era lwaki ekyo kikulu nnyo?

  • Ebiri mu Okubikkulirwa 13:16, 17, biraga bitya nti Sitaani agezaako okukyusa endowooza yaffe n’enneeyisa yaffe ng’ayitira mu nteekateeka ye ey’eby’obufuzi?

Bintu ki ebisatu ebiyinza okutuleetera okubaako oludda lwe tuwagira?