Jjulaayi 2-8
LUKKA 6-7
Oluyimba 109 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Ekipimo Kye Mukozesa Okupimira Abalala . . .”: (Ddak. 10)
Luk 6:37—Bwe tusonyiwa abalala, nabo bajja kutusonyiwa (“Musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 6:37, nwtsty; w08 5/15 lup. 9-10 ¶13-14)
Luk 6:38—Tusaanidde okuba abagabi (“Mugabenga” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 6:38, nwtsty)
Luk 6:38—Ekipimo kye tukozesa okupimira abalala, nabo kye bajja okukozesa okutupimira (“mu bikondoolo byammwe” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 6:38, nwtsty)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Luk 6:12, 13—Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yateerawo Abakristaayo abalina ekintu ekikulu kye baagala okusalawo? (w07 8/1 lup. 4 ¶7)
Luk 7:35—Ebigambo bya Yesu ebiri mu lunyiriri luno bituyamba bitya bwe tuba nga twogeddwako eby’obulimba? (w12 12/15 lup. 22 ¶13)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Luk 7:36-50
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 198 ¶4-5
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Koppa Yakuwa Katonda Omugabi: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:
Yakuwa ne Yesu bakiraze batya nti bagabi?
Mikisa ki Yakuwa gy’atuwa bwe tuba abagabi?
Okusonyiyira ddala, kitegeeza ki?
Tukiraga tutya nti tuli bagabi, bwe kituuka ku ngeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe?
Tuyinza tutya okusiima abalala?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 27
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 57 n’Okusaba