Jjulaayi 23-29
LUKKA 12-13
Oluyimba 4 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Muli ba Muwendo Nnyo Okusinga Enkazaluggya Ennyingi”: (Ddak. 10)
Luk 12:6—N’obunyonyi obutono ennyo Katonda abutwala nga bwa muwendo (“enkazaluggya” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 12:6, nwtsty)
Luk 12:7—Okuba nti Yakuwa amanyi byonna ebitukwatako, kiraga nti atufaako nnyo (“n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 12:7, nwtsty)
Luk 12:7—Buli muntu wa muwendo eri Yakuwa (cl lup. 241 ¶4-5)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Luk 13:24—Ebigambo bya Yesu ebiri mu lunyiriri luno bitegeeza ki? (“Mufube nnyo” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 13:24, nwtsty)
Luk 13:33—Lwaki Yesu yayogera ebigambo ebiri mu lunyiriri luno? (“talina kuttirwa” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 13:33, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Luk 12:22-40
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ajje mu nkuŋŋaana.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) lv lup. 184-185 ¶4-5
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Tebeerabirwa: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Mbeera ki enzibu ababuulizi abasatu be tulabye mu vidiyo ze boolekagana nazo?
Yakuwa akiraze atya nti tabeerabidde?
Ababuulizi abo basobodde batya okweyongera okuweereza Yakuwa, era ekyo kizzizzaamu kitya abalala amaanyi?
Abakaddiye n’abalwadde abali mu kibiina kyo, oyinza otya okubalaga okwagala?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 30
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 5 n’Okusaba