Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjulaayi 9-15

LUKKA 8-9

Jjulaayi 9-15
  • Oluyimba 13 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Okuba Omugoberezi wa Yesu Kyetaagisa Ki?”: (Ddak. 10)

    • Luk 9:57, 58​—Abagoberezi ba Yesu balina okwesiga Yakuwa (it-2-E lup. 494)

    • Luk 9:59, 60​—Abagoberezi ba Yesu bakulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu bulamu bwabwe (“nziike kitange,” “Leka abafu baziike abafu baabwe” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 9:59, 60, nwtsty)

    • Luk 9:61, 62​—Abagoberezi ba Yesu tebakkiriza kuwugulibwa bintu bya mu nsi (“Okulima” ekifaananyi ekiraga ebiri mu Luk 9:62, nwtsty; w12 4/15 lup. 15-16 ¶11-13)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Luk 8:3​—Abakazi aboogerwako mu lunyiriri luno ‘baaweerezanga’ batya Yesu n’abatume be? (“abaali babaweereza” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 8:3, nwtsty)

    • Luk 9:49, 50​—Lwaki Yesu teyagaana musajja kugoba dayimooni, wadde ng’omusajja oyo yali tamugoberera? (w08 3/15 lup. 31 ¶3)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Luk 8:1-15

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.

  • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

  • Okwogera: (Ddak. 6 oba obutawera) w12 3/15 lup. 27-28 ¶11-15​—Omutwe: Twandyejjusizza olw’Ebintu Bye Twefiiriza Okusobola Okuweereza Yakuwa?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO