OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okuba Omuvumu Si Kizibu Nnyo
Obuvumu kitegeeza okuba omunywevu, omugumu, oba omumalirivu. Tekitegeeza nti totya. Mu kifo ky’ekyo, kitegeeza okuba omumalirivu n’obaako ky’okolawo wadde ng’otidde. Yakuwa ye nsibuko y’obuvumu obwa nnamaddala. (Zb 28:7) Abavubuka bayinza batya okwoleka obuvumu?
MULABE VIDIYO, TOKOPPA BATIITIIZI, KOPPA ABAVUMU! OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Mbeera ki abavubuka ze boolekagana nazo ezibeetaagisa okwoleka obuvumu?
-
Byakulabirako ki ebiri mu Bayibuli ebisobola okutuyamba okuba abavumu?
-
Bwe twoleka obuvumu kituganyula kitya era kiganyula kitya abo abatulaba?