Agusito 9-15
EKYAMATEEKA 24-26
Oluyimba 137 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Engeri Amateeka Gye Gaalagamu nti Yakuwa Afaayo ku Bakazi”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Ma 24:1—Lwaki tetusaanidde kulowooza nti Amateeka ga Musa gaakifuulanga kyangu omusajja okugattulula mukazi we? (it-1-E lup. 640 ¶5)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Ma 26:4-19 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 1)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 2)
Okwogera: (Ddak. 5) w19.06 lup. 23-24 ¶13-16—Omutwe: Tuyinza Tutya Okubudaabuda n’Okuyamba Bannamwandu ne Bassemwandu? (th essomo 20)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Abakazi Abakulu Batwale nga Bamaama Bo, Ate Abakazi Abato Batwale nga Bannyoko”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Weeyongere Okwoleka Okwagala mu Kibiina—Eri Bannamwandu n’Abatalina Bakitaabwe.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 12 ¶1-6, vidiyo eyanjula essuula, akas. 12A
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 101 n’Okusaba