Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Engeri Amateeka Gye Gaalagamu nti Yakuwa Afaayo ku Baavu

Engeri Amateeka Gye Gaalagamu nti Yakuwa Afaayo ku Baavu

Abantu abaavu n’abo abataalina busika baafunanga obuyambi okuva mu ggwanga lya Isirayiri (Ma 14:28, 29; it-2-E lup. 1110 ¶3)

Mu mwaka gwa Ssabbiiti Abayisirayiri abaalinanga amabanja ‘baasumululwanga’ amabanja gaabwe (Ma 15:1-3; it-2-E lup. 833)

Omuyisirayiri bwe yeetundanga mu buddu n’amala emyaka mukaaga ng’aweereza, mu mwaka ogw’omusanvu yateebwanga era mukama we yamuwanga ekirabo (Ma 15:12-14; it-2-E lup. 978 ¶6)

WEEBUUZE, ‘Bintu ki bye nnyinza okukola okulaga nti nfaayo ku Bakristaayo abali mu bwetaavu?’