Jjulaayi 26–Agusito 1
EKYAMATEEKA 19-21
Oluyimba 141 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Obulamu bw’Abantu Bwa Muwendo eri Yakuwa”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Ma 21:19—Lwaki kkooti yabanga ku mulyango gw’ekibuga? (it-1-E lup. 518 ¶1)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Ma 19:1-14 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 12)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Beera ng’amulaga vidiyo, Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? (th essomo 6)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) bhs lup. 138 ¶8 (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Weewale Ekintu Kyonna Ekiyinza Okuteeka Obulamu Bwo mu Kabi”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Lwaki tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekiyinza okuteeka obulamu bwaffe mu kabi? Bintu ki bye tuyinza okukola okusobola okwewala obubenje?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 11 ¶9-17
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 108 n’Okusaba