OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO | WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA EBY’OMWAKA GW’OBUWEEREZA OMUPYA
Okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka
Tekyetaagisa kuba nti embeera zo zikusobozesa okukola buli kimu n’olyoka oluubirira enkizo ey’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Ekisinga obukulu kwe kuba nti oli mukulu mu by’omwoyo era ng’oli mwetegefu okugenda yonna ekibiina kya Yakuwa gye kinaaba kikusindise.—Is 6:8.
MULABE VIDIYO, YOLEKA OKUKKIRIZA OYINGIRE MU LUGGI OLUNENE OLW’EMIRIMU—JJUZAAMU FOOMU EY’OKUGENDA MU SSOMERO LY’ABABUULIZI B’ENJIRI Y’OBWAKABAKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:
-
Lwaki Gabriel yali atidde okujjuzaamu foomu ey’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, era okufumiitiriza ku Abafiripi 4:13 kyamuyamba kitya?