OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO | WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA EBY’OMWAKA GW’OBUWEEREZA OMUPYA
Okuyambako mu Kuzimba Ebizimbe Ebikozesebwa Ekibiina kya Yakuwa
Okuzimba ebizimbe ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa nabwo buweereza butukuvu. (Kuv 36:1) Osobola okuyambangako mu projekiti eziba mu kitundu kyo ng’ojjuzaamu foomu eyitibwa Local Design/Construction Volunteer Application (DC-50). Oba osobola okugenda okuyambako mu projekiti z’okuzimba eziri mu bitundu eby’ewalako okumala wiiki eziwera oba emyezi, ng’ojjuzaamu foomu eyitibwa Application for Volunteer Program (A-19). Tekikwetaagisa kuba ng’olina obumanyirivu mu kuzimba.—Nek 2:1, 4, 5.
MULABE VIDIYO, YOLEKA OKUKKIRIZA OYINGIRE MU LUGGI OLUNENE OLW’EMIRIMU—YAMBAKO MU KUZIMBA EBIZIMBE EBIKOZESEBWA EKIBIINA KYA YAKUWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:
-
Biki Sarah bye yali yeeraliikirira, era kiki ekyamuyamba?