Agusito 15-21
1 BASSEKABAKA 5-6
Oluyimba 122 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Baazimba n’Omutima Gwabwe Gwonna”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1Sk 6:1—Ebiri mu lunyiriri luno bituyigiriza ki ku Bayibuli? (g-E 5/12 lup. 17, akasanduuko)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1Sk 5:1-12 (th essomo 12)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ebyo ebiri ku lupapula olw’emabega olwa brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Kola enteekateeka okuddayo oddemu ekibuuzo ky’omutwe gw’essomo 01. (th essomo 11)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Ddayo eri omuntu eyakkiriza brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! era omulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (th essomo 2)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 06 akatundu 5 (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Atuyamba nga Tuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Biki ebyalaga nti Yakuwa yawa omukisa omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Micronesia? Omwoyo omutukuvu guyamba gutya ab’oluganda abazimba ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza Yakuwa? Kiki ekyakulaga nti Yakuwa yawa omukisa omulimu gw’okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka gwe weenyigiramu?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 16
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 20 n’Okusaba