Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli mu Ssebutemba

Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli mu Ssebutemba

Mu Ssebutemba tujja kuba ne kaweefube ow’enjawulo ow’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli nga tukozesa brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Ababuulizi abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi omwezi ogwo basobola okuwaayo essaawa 30. Kaweefube oyo tunaamukola tutya?

  • Ku Mulundi Ogusooka: Tandika okunyumya n’omuntu ng’okozesa ebyo ebiri emabega wa brocuwa era omulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. Ate era ddayo eri abo be wabuulirako ne basiima obubaka bwaffe, nga mw’otwalidde n’abo be wali oddiŋŋana. Wadde nga mu kusooka tebakkiriza kuyigirizibwa Bayibuli, bayinza okwagala okuyigirizibwa nga tukozesa enkola empya ey’okuyigiriza ne brocuwa empya. Brocuwa eyo tetusaanidde kugireka we tutasanze bantu waka oba okugiteeka awamu n’ebbaluwa ne tugiweereza omuntu ataasiima bubaka bwaffe. Mu mwezi ogwo, Akiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kasobola okwongera ku nnaku ze mufunirako enkuŋŋaana ez’okugenda okubuulira.

  • Engeri Endala Gye Tuyinza Okwenyigira mu Kaweefube Oyo: Ekibiina kyammwe bwe kiba kikozesa obugaali okuba obutabo, muteekeeko brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Omuntu ayagala okutwala brocuwa mumutegeeze ne ku nteekateeka ey’okuyigirizibwa Bayibuli ku bwereere. Mu bufunze, mulage engeri gye tukozesa brocuwa eyo okuyigiriza abantu Bayibuli, era okole enteekateeka okutandika okumuyigiriza oluvannyuma. Omulabirizi w’obuweereza asobola okukola enteekateeka n’alonda ababuulizi abalina obumanyirivu ne bagenda mu bifo awakolerwa bizineesi ne balaga abantu engeri gye tukozesa brocuwa eyo okuyigiriza abantu Bayibuli. Ate era abo b’okola nabo ne b’oba obuulidde embagirawo nabo osobola okubabuulira ku nteekateeka ey’okuyigirizibwa Bayibuli ku bwereere.

Yesu yatulagira ‘okufuula abantu abayigirizwa, nga tubayigiriza.’ (Mat 28:19, 20) Kaweefube oyo k’atuyambe okutuukiriza ekyo Yesu kye yatulagira, nga tukozesa brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!