OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weetegereza Engeri Essaala Zo Gye Ziba Ziddiddwamu?
Bayibuli erimu essaala nnyingi Yakuwa ze yaddamu. Abaweereza ba Yakuwa bwe baalabanga engeri Yakuwa gye yabanga azzeemu essaala zaabwe era n’engeri gye yabayambangamu, awatali kubuusabuusa, okukkiriza kwabwe kweyongera okunywera. N’olwekyo, kirungi okukoonera ddala ku nsonga nga tusaba Yakuwa era oluvannyuma ne tugezaako okwetegereza engeri gy’aba azzeemu okusaba kwaffe. Kijjukire nti essaala zaffe ayinza obutaziddamu nga bwe tusuubira, oba ayinza n’okutuwa ekisukka ku ekyo kye tuba tumusabye. (2Ko 12:7-9; Bef 3:20) Yakuwa ayinza kuddamu atya essaala zaffe?
-
Asobola okutuwa amaanyi ne tusobola okwaŋŋanga ekizibu kye tuba twolekagana nakyo.—Baf 4:13
-
Asobola okutuwa amagezi ne tusalawo bulungi.—Yak 1:5
-
Asobola okutwagazisa okubaako kye tukola era n’atuwa amaanyi okukikola.—Baf 2:13
-
Asobola okutuwa emirembe mu mutima bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza.—Baf 4:6, 7
-
Asobola okukozesa abalala okutuyamba n’okutuzzaamu amaanyi.—1Yo 3:17, 18
MULABE VIDIYO, YAKUWA “AWULIRA OKUSABA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Ekyokulabirako ky’ow’Oluganda Shimizu kituzzaamu kitya amaanyi bwe tuba nga tetusobola kukola byonna bye twandyagadde kukola olw’obulwadde?
-
Tuyinza tutya okukoppa ow’Oluganda Shimizu?