OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri y’Okukozesaamu Ebiri mu Kitundu Bye Tuyinza Okwogerako
Ab’oluganda bafuba nnyo okuteekateeka ebyo ebiri mu kitundu Bye Tuyinza Okwogerako, era ababuulizi bangi bakisanze nti ebiba mu kitundu ekyo bikwata nnyo ku bantu be baba babuulira. Kyokka olw’okuba embeera mu bitundu ebitali bimu mu nsi zaawukana, ababuulizi bwe baba mu buweereza, basobola okukyusaamu ku ebyo ebiri mu kitundu ekyo oba okukozesa ennyanjula endala esobola okukwata ku bantu b’omu kitundu kyabwe. Kyo kituufu nti ffenna tusaanidde okugoberera obulagirizi obuba butuweereddwa bwe wabaawo kaweefube ow’enjawulo. Ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kukola omulimu Yesu gwe yatuwa ogw’okubuulira amawulire amalungi.—Mat 24:14.
Ababuulizi ababa baweereddwa eby’okukolako mu Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe, basaanidde okukozesa ebyo ebiri mu kitundu Bye Tuyinza Okwogerako. Kyokka, okuggyako nga waliwo obulagirizi obulala obuba buweereddwa, basobola okukozesa ekibuuzo ekirala, ekyawandiikibwa ekirala, eky’okulekawo ekirala, n’embeera endala, ebituukagana n’ekitundu kyammwe. Kino kikyusaamu ku bulagirizi obuli mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Jjuuni 2020, olupapula 8.