Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO | WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA EBY’OMWAKA GW’OBUWEEREZA OMUPYA

Okuweereza nga Payoniya

Okuweereza nga Payoniya

Tusobola okukozesa obulungi amaanyi gaffe bwe tweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. (1Ko 9:26) Okuba n’ebiruubirirwa kituyamba okukozesa obulungi ekiseera ekisigaddeyo ng’enkomerero y’enteekateeka eno tennatuuka. (Bef 5:15, 16) Mu kusinza kwammwe okw’amaka musobola okwogera ku biruubirirwa bye muyinza okweteerawo, eby’omwaka gw’obuweereza ogujja. Akatabo kano ak’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kalimu ebitundu ebiraga ebiruubirirwa bye musobola okweteerawo. Musabe Yakuwa abayambe okusalawo obulungi ku nsonga eyo.​—Yak 1:5.

Ng’ekyokulabirako, ab’omu maka basobola okukolera awamu ne bawagira omu ku bo n’aweereza nga payoniya owa bulijjo. Bw’oba toli mukakafu obanga onoosobola okuweza essaawa bapayoniya ze balina okuwaayo, yogerako ne payoniya ali mu mbeera efaananako ng’eyiyo akuwe ku magezi. (Nge 15:22) Oboolyawo muyinza n’okubaako payoniya gwe mwebuuzaako ku nsonga eyo mu kusinza kwammwe okw’amaka. Oluvannyuma mukole enteekateeka ezitali zimu ez’okubuulira era muziteeke mu buwandiike. Bw’oba nga waweerezaako nga payoniya owa bulijjo naye n’olekera awo, laba obanga kati osobola okuddamu okuweereza nga payoniya owa bulijjo.

Waliwo abamu mu maka gammwe abasobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi okumala omwezi gumu oba okusingawo? Bw’oba ng’oli munafunafu, oboolyawo olw’obulwadde, osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi ng’oyongera ku biseera by’omala mu mulimu gw’okubuulira. Bw’oba nga tosobola kubuulira mu nnaku eza wakati mu wiiki olw’okuba okola ekiseera kyonna oba okyasoma, osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi mu myezi egirimu ennaku enkulu oba wiikendi ettaano. Lamba ku kalenda ennaku z’oyagala okutandikirako okuweereza nga payoniya omuwagizi era okole enteekateeka y’okubuulira ogiteeke mu buwandiike.​—Nge 21:5.

MULABE VIDIYO, BEERA MUVUMU . . . PAYONIYA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU KIBUUZO KINO:

  • Yakuwa yalabirira atya mwannyinaffe Aamand era ekyo kituyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’afaayo ku abo abaweereza nga bapayoniya?