OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Koppa Okwagala kwa Yakuwa Okutajjulukuka
Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’okulaga okwagala okutajjulukuka. (Zb 103:11) Okwagala kuno si nneewulira omuntu gy’ayinza okuba nayo okumala akaseera katono. Okwagala okutajjulukuka kuzingiramu okunywerera ku muntu. Yakuwa yalaga Abayisirayiri okwagala okutajjulukuka mu ngeri nnyingi. Yabaggya mu buddu e Misiri era n’abatwala mu Nsi Ensuubize. (Zb 105:42-44) Yalwanirira abantu be, era emirundi mingi yabasonyiwanga nga bakoze ensobi. (Zb 107:19, 20) Bwe ‘tufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa ebiraga okwagala kwe okutajjulukuka,’ kituleetera okumukoppa.—Zb 107:43.
MULABE VIDIYO “FUMIITIRIZA KU BIKOLWA BYA YAKUWA EBIRAGA OKWAGALA KWE OKUTAJJULUKUKA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Tuyinza tutya okulaga okwagala okutajjulukuka?
-
Lwaki kitwetaagisa okwefiiriza okusobola okulaga okwagala okutajjulukuka?