OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okulwanirira Amawulire Amalungi n’Okuganyweza Okuyitira mu Mateeka”
Abalabe bwe baagezaako okukomya omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu, Abayisirayiri baakozesa amateeka okusobola okweyongera okuzimba. (Ezr 5:11-16) Abakristaayo nabo bafubye okulwanirira amawulire amalungi n’okuganyweza okuyitira mu mateeka. (Baf. 1:7) Eyo y’ensonga lwaki Ekitongole Ekikola ku by’Amateeka kyatandikibwawo ku kitebe kyaffe ekikulu mu 1936. Leero Ekitongole Ekikola ku by’Amateeka ekiri ku Kitebe Ekikulu kiyamba ab’oluganda mu nsi yonna okulwanirira mu mateeka omulimu gw’Obwakabaka. Biki ekitongole kino bye kikoze ebiyambye omulimu gw’Obwakabaka okugenda mu maaso era ebiganyudde abantu ba Katonda?
MULABE VIDIYO OKUKYALIRA EKITONGOLE EKIKOLA KU BY’AMATEEKA KU KITEBE KYAFFE EKIKULU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO WAMMANGA:
-
Kusoomooza ki Abajulirwa ba Yakuwa kwe bazze boolekagana nakwo?
-
Misango ki gye tuwangudde? Waayo ekyokulabirako
-
Kiki buli omu ku ffe ky’asobola okukola “okulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka”?
-
Wa ku mukutu gwaffe we tusobola okusoma ku misango egikwata ku bantu ba Katonda n’amannya g’Abajulirwa ba Yakuwa abasibiddwa olw’okukkiriza kwabwe?