Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Osobola Okubaako ky’Okolawo Okwongera Essanyu mu Maka

Osobola Okubaako ky’Okolawo Okwongera Essanyu mu Maka

Yakuwa ayagala ab’omu maka babeere basanyufu. (Zb 127:3-5; Mub 9:9; 11:9) Kyokka ebintu ebyeraliikiriza mu nsi, n’ensobi abamu ku b’omu maka gaffe ze bakola biyinza okutumalako essanyu. Kiki buli omu mu maka ky’ayinza okukola okusobola okwongera okuleetawo essanyu?

Omwami asaanidde okuwa mukyala we ekitiibwa. (1Pe 3:7) Asaanidde okuwaayo ebiseera okubeerako awamu naye. Tasaanidde kumusuubiramu kisukkiridde era alina okukyoleka nti asiima ebyo by’amukolera n’ebyo by’akolera ab’omu maka bonna. (Bak 3:15) Asaanidde okukyoleka nti amwagala, era asaanidde okwogera ebigambo ebimutendereza.​—Nge 31:28, 31.

Omukyala alina okufuba okuwagira omwami we. (Nge 31:12) Asaanidde okumugondera n’okukolera awamu naye. (Bak 3:18) Asaanidde okwogera naye mu ngeri ey’ekisa, n’okumwogerako obulungi.​—Nge 31:26.

Abazadde basaanidde okuwaayo ebiseera okubeerako awamu n’abaana baabwe. (Ma 6:6, 7) Basaanidde okubuulira abaana baabwe nti babaagala. (Mat 3:17) Bwe baba babakangavvula, basaanidde okwoleka okwagala n’okutegeera.​—Bef 6:4.

Abaana basaanidde okussaamu bazadde baabwe ekitiibwa n’okubagondera. (Nge 23:22) Basaanidde okubuulira bazadde baabwe ebibali ku mutima n’engeri gye beewuliramu. Bazadde baabwe bwe babakangavvula tebasaanidde kukitwala bubi.​—Nge 19:20.

MULABE VIDIYO, MUBE N’ESSANYU MU MAKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:

• Kiki buli omu kye yakola okusobola okuleetawo essanyu mu maka?