Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Ssebutemba!

Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Ssebutemba!

Mu mwezi gwa Ssebutemba, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda, nti bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu. (Mat 24:14) Oyinza otya okwenyigira mu kaweefube oyo? Somera abantu bangi nga bwe kisoboka waakiri ekyawandiikibwa kimu ekikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Omuntu bw’alaga okusiima ku mulundi ogusooka, muwe magazini y’Omunaala gw’Omukuumi Na. 2 2020. Fuba okumuddira amangu ddala nga bwe kisoboka, era ogezeeko okutandika okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo, basobola okuwaayo essaawa 15 oba 30.

Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuzikiriza obufuzi bw’abantu bwonna. (Dan 2:44; 1Ko 15:24, 25) N’olwekyo, ka tukozese akakisa kano okulaga nti twagala Yakuwa era nti tuwagira Obwakabaka bwe!