Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Olina Biruubirirwa Ki mu Mwaka gw’Obuweereza Ogujja?

Olina Biruubirirwa Ki mu Mwaka gw’Obuweereza Ogujja?

Ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo bizingiramu ebyo byonna bye tukola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu era n’okumusanyusa. Ebiruubirirwa ebyo bituyamba okukula mu by’omwoyo. Eyo ye nsonga lwaki tuwaayo ebiseera n’amaanyi gaffe okusobola okubituukako. (1Ti 4:15) Lwaki tusaanidde okwekenneenyanga ebiruubirirwa byaffe? Kubanga embeera zikyuka. Tuyinza okwesanga ng’ekiruubirirwa kye tweteerawo tetukyasobola kukituukako, oba nga twakituukako era nga kitwetaagisa okweteerawo ekirala.

Ekiseera ekirungi eky’okwekenneenya ebiruubirirwa bye tuyinza okweteerawo kye kyo ng’omwaka gw’obuweereza omupya tegunnatandika. Mu kusinza kw’amaka, lwaki temwogera ku biruubirirwa bye muyinza okweteerawo ng’amaka, oba by’oyinza okweteerawo kinnoomu?

Biruubirirwa ki bye weeteereddewo ku bintu bino wammanga, era biki by’oyinza okukola okusobola okubituukako?

Okusoma Bayibuli, okwesomesa, okubaawo mu nkuŋŋaana, okubaako by’oddamu mu nkuŋŋaana.​—w02 7/1 lup. 9 ¶14-15

Okubuulira.​—w23.05 lup. 27 ¶4-5

Engeri z’Ekikristaayo.​—w22.04 lup. 23 ¶5-6

Ekirala: