Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bakola Nnyo ku Lwaffe

Bakola Nnyo ku Lwaffe

Abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe, beefiiriza nnyo ku lw’abo be baweereza. Nga bwe kiri eri ffenna, nabo babaako bye beetaaga, oluusi bakoowa, bafuna ebintu ebibamalamu amaanyi oba ebibeeraliikiriza. (Yak 5:17) Wadde kiri kityo, buli wiiki ebirowoozo byabwe babissa ku ngeri gye bayinza okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaabwe be baba bakyalidde. Mazima ddala abalabirizi abakyalira ebibiina basaanidde ‘okussibwamu ennyo ekitiibwa.’​—1Ti 5:17.

Omutume Pawulo bwe yali ateekateeka okukyalira ab’oluganda mu kibiina ky’e Rooma asobole “okubawa ekirabo eky’eby’omwoyo,” yali yeesunga ab’oluganda abo nabo okumuzzaamu amaanyi. (Bar 1:11, 12) Olowoozezza ku ngeri gy’oyinza okuzzaamu amaanyi omulabirizi akyalira ebibiina ne mukyala we, bw’aba nga mufumbo?

MULABE VIDIYO OBULAMU BW’OMULABIRIZI AWEEREREZA MU BITUNDU EBY’OMU BYALO, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe beefiiriza batya ku lw’ekibiina?

  • Oganyuddwa otya mu kufuba kwabwe?

  • Tuyinza tutya okubazzaamu amaanyi?