Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Nekkemiya Yali Ayagala Okuweereza So Si Okuweerezebwa

Nekkemiya Yali Ayagala Okuweereza So Si Okuweerezebwa

Nekkemiya teyakozesa buyinza bwe kwenoonyeza bibye (Nek 5:14, 15, 17, 18; w02-E 11/1 lup. 27 ¶3)

Nekkemiya teyakola bukozi gwa kulabirira mulimu, naye era yeenyigira mu mulimu ogwo (Nek 5:16; w16.09 lup. 6 ¶16)

Nekkemiya yasaba Yakuwa amujjukire olw’okwefiiriza kwe yakola (Nek 5:19; w00 2/1 lup. 32)

Wadde nga Nekkemiya yali gavana, yali tasuubira bantu kumuyisa mu ngeri ya njawulo. Abo bonna abalina enkizo n’obuvunaanyizibwa obutali bumu mu kibiina, yabateerawo ekyokulabirako ekirungi.

WEEBUUZE, ‘Njagala nnyo abalala okubaako bye bankolera mu kifo ky’okubaako bye mbakolera?’