Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Engeri Ezera Gye Yeeyisaamu Yaweesa Yakuwa Ekitiibwa

Engeri Ezera Gye Yeeyisaamu Yaweesa Yakuwa Ekitiibwa

Ezera yakkiriza Ekigambo kya Katonda okukwata ku mutima gwe n’okumuleetera okubaako ky’akolawo (Ezr 7:10; w00 10/1 lup. 23-24 ¶8)

Ezera yayamba abalala okulaba amagezi ga Katonda (Ezr 7:25; si-E lup. 75 ¶5)

Olw’okuba Ezera yeetoowaza mu maaso ga Katonda, yali mukakafu nti Yakuwa yandimuwadde obulagirizi era nti yandimukuumye (Ezr 8:21-23; it-1-E lup. 1158 ¶4)

Engeri ey’amagezi Ezera gye yeeyisaamu yaviirako kabaka okumukwasa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Okufaananako Ezera, naffe tusobola okuweesa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu nneeyisa yaffe.

WEEBUUZE, ‘Abantu abataweereza Yakuwa banzisaamu ekitiibwa olw’okuba nkolera ku mitindo gya Yakuwa?’