EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Ebizibu Ebiva mu Butaba Bawulize
Abamu ku Bayisirayiri baawasa abakazi abaali batasinza Yakuwa (Ezr 9:1, 2; w06 1/1 lup. 26 ¶1)
Baamenya ebiragiro bya Yakuwa ebyali bitegeerekeka obulungi (Ezr 9:10-12)
Obutaba bawulize kyabaleetera obulumi bungi awamu n’abomu maka gaabwe (Ezr 10:10, 11, 44)
Byonna Yakuwa by’atulagira biganyula ffe. (w09-E 10/1 lup. 10 ¶6) Bwe tuba abawulize tuwona ebizibu bingi, ate mu biseera eby’omu maaso tujja kufuna emikisa egy’olubeerera.
WEEBUUZE, ‘Okuba omuwulize eri Yakuwa kinnyambye kitya okuwona ebizibu ebimu?’