EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Otwala Otya Emirimu gy’Emikono?
Kabona asinga obukulu ne baganda be baali tebeetwala nti ba wagulu nnyo okwenyigira mu mulimu gw’okuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi (Nek 3:1)
Abamu ku bantu ab’ebitiibwa “tebeetoowaza” kukola mulimu gw’okuddaabiriza bbugwe (Nek 3:5; w06 2/1 lup. 30 ¶1)
Abakazi abaali batya Katonda beenyigira mu mulimu ogutaali mwangu ogw’okuddamu okuzimba bbugwe (Nek 3:12; w19.10 lup. 23 ¶11)
Emirimu mingi egikolebwa mu kibiina kya Yakuwa gya mikono oba gya wansi. Ate era mingi ku gyo tegirabibwa balala.—w04 8/1 lup. 28 ¶16.
WEEBUUZE, ‘Ndowooza ki gye nnina ku kukola emirimu egyo ku lw’amawulire amalungi?’—1Ko 9:23.