Agusito 12-18
ZABBULI 73-74
Oluyimba 36 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Watya Singa Tukwatirwa Obuggya Abo Abataweereza Yakuwa?
(Ddak. 10)
Tuyinza okukwatirwa obuggya abo abataweereza Yakuwa (Zb 73:3-5; w20.12 lup. 19 ¶14)
Okusinziza awamu ne bakkiriza bannaffe mu kifo ky’okweyawula, kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku abo abataweereza Yakuwa (Zb 73:17; Nge 18:1; w20.12 lup. 19 ¶15-16)
Abo abataweereza Yakuwa bali mu kifo “awali obuseerezi”; abo abaweereza Yakuwa batuusibwa mu “kitiibwa” (Zb 73:18, 19, 24; w14 4/15 lup. 4 ¶5; w13 2/15 lup. 25-26 ¶3-5)
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Zb 74:13, 14—“Leviyasani” ekiikirira ki? (it-2-E lup. 240)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 74:1-23 (th essomo 10)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Noonya engeri gy’oyinza okubuulira omuntu gw’omanyi ku kimu ku ebyo bye wayize mu lukuŋŋaana. (lmd essomo 2 akatundu 4)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Mutegeeze ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli era omulage engeri gye tukikolamu. (lmd essomo 8 akatundu 3)
6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu
(Ddak. 5) Okwogera. ijwbq 89—Omutwe: Amadiini Gonna Gasiimibwa Katonda? (th essomo 14)
Oluyimba 72
7. Ebyetaago by’Ekibiina
(Ddak. 15)
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 14 ¶1-6, akasanduuko ku lup. 126