Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Agusito 26–Ssebutemba 1

ZABBULI 78

Agusito 26–Ssebutemba 1

Oluyimba 97 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Kye Tuyigira ku Butali Bwesigwa bw’Abayisirayiri

(Ddak. 10)

Abayisirayiri beerabira ebintu ebirungi Yakuwa bye yali abakoledde (Zb 78:​11, 42; w96-E 12/1 lup 29-30)

Abayisirayiri tebaasiima birungi Yakuwa bye yali abakoledde (Zb 78:19; w06 8/1 lup. 11 ¶16)

Abayisirayiri tebaayigira ku nsobi zaabwe; baazikola enfunda n’enfunda (Zb 78:​40, 41, 56, 57; w11-E 7/1 lup. 10 ¶3-4)


EKY’OKULOWOOZAAKO: Kiki ekinaatuyamba okwewala obutaba beesigwa eri Yakuwa?

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 78:​24, 25—Lwaki emmaanu eyitibwa “emmere ey’omu ggulu” era “emmere ey’ab’amaanyi”? (w06 9/1 lup. 9 ¶4)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 5 akatundu 5)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Kozesa tulakiti okutandika okunyumya n’omuntu, era omubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 5 akatundu 4)

6. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 1) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu akusaba oyite mu bufunze. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 2 akatundu 5)

7. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Nga tokozesezza Bayibuli, yogera mu ngeri eya bulijjo, otegeeze omuntu nti oli Mujulirwa wa Yakuwa, era omubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 2 akatundu 4)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 96

8. Yigira ku Firipo Omubuulizi w’Enjiri

(Ddak. 15) Kukubaganya Birowoozo.

Bayibuli erimu ebyokulabirako ebirungi n’ebibi. Okusobola okubaako bye tubiyigirako, tusaanidde okuwaayo ebiseera era tusaanidde okufuba. Ate era tusaanidde n’okufumiitiriza ku ebyo bye tubiyigirako era n’okukola enkyukakyuka.

Firipo omubuulizi w’enjiri yali amanyiddwa ng’Omukristaayo eyali ‘ajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi.’ (Bik 6:​3, 5) Kiki kye tumuyigirako?

Mulabe VIDIYO Bye Tuyigira ku Firipo Omubuulizi w’Enjiri. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza bye bayigidde ku bintu bino wammanga:

  • Engeri Firipo gye yeeyisaamu embeera ye bwe yakyuka embagirawo.—Bik 8:​1, 4, 5

  • Emikisa Firipo gye yafuna olw’okuba omwetegefu okugenda awaali obwetaavu obusingako. —Bik 8:​6-8, 26-31, 34-40

  • Emikisa Firipo n’ab’omu maka ge gye baafuna olw’okuba n’omwoyo ogw’okusembeza abalala. —Bik 21:​8-10

  • Essanyu ab’omu maka abalagiddwa mu vidiyo lye baafuna bwe baakoppa Firipo

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 14 ¶11-20

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 101 n’Okusaba