Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Agusito 5-11

ZABBULI 70-72

Agusito 5-11

Oluyimba 59 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. ‘Buulira Omulembe Oguliddawo’ ku Maanyi ga Yakuwa

(Ddak. 10)

Yakuwa yakuuma Dawudi mu buvubuka bwe (Zb 71:5; w99 9/1 lup. 25 ¶17)

Dawudi yakiraba nti Yakuwa yali amuyamba ne mu myaka gye egy’obukadde (Zb 71:9; g04-E 10/8 lup. 23 ¶3)

Dawudi yazzaamu abato amaanyi ng’ababuulira ku ebyo bye yali ayiseemu (Zb 71:​17, 18; w14 1/15 lup. 23 ¶4-5)

WEEBUUZE, ‘Ani ku b’oluganda abali mu kibiina kyange amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza Yakuwa gwe nnandyagadde okukyaza mu kusinza kwaffe okw’amaka atubuulire by’ayiseemu?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 72:8—Ekyo Yakuwa kye yasuubiza Ibulayimu mu Olubereberye 15:18 kyatuukirira kitya mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Sulemaani? (it-1-E lup. 768)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu bw’atandika okukaayana komya emboozi mu mirembe. (lmd essomo 4 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Weeyongere okunyumya n’ow’eŋŋanda zo eyali alonzalonza okutandika okuyiga Bayibuli. (lmd essomo 8 akatundu 4)

6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 5) Okwogera. ijwfq-E 49—Omutwe: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Bakyusizzaamu ku Zimu ku Njigiriza Zaabwe? (th essomo 17)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 76

7. Bye Muyinza Okukolako mu Kusinza kw’Amaka

(Ddak. 15) Kukubaganya Birowoozo.

Okusinza kw’amaka kuyamba abaana okuyiga ‘okukangavvula n’okubuulirira kwa Yakuwa.’ (Bef 6:4) Kyetaagisa okufuba abaana okusobola okuyiga, naye kisanyusa nnyo nnaddala abaana bwe batandika okwagala amazima agali mu Bayibuli. (Yok 6:27; 1Pe 2:2) Laba akasanduuko “ Bye Muyinza Okukola mu Kusinza kw’Amaka,” ebisobola okuyamba abazadde okuteekateeka obulungi okusinza kw’amaka ab’omu maka ne bakuganyulwamu era ne bakunyumirwa. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Ku magezi agaweereddwa, galiwa ge wandyagadde okugezaako okukozesa?

  • Waliwo ekirala ky’olabye ekisobola okubaganyula?

Mulabe VIDIYO Mweyongere Okulongoosa mu Kusinza Kwammwe okw’Amaka. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Omwami ayinza atya okuleetera mukyala we okunyumirwa okusinza kw’amaka, ng’abaana tebakyaliwo awaka?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 13 ¶17-24

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 123 n’Okusaba