Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjulaayi 15-21

ZABBULI 63-65

Jjulaayi 15-21

Oluyimba 108 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Okwagala Kwo Okutajjulukuka Kusinga Obulamu”

(Ddak. 10)

Okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kya muwendo okusinga obulamu (Zb 63:3; w01 11/1 lup. 10-11 ¶17-18)

Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayoleseemu okwagala kwe okutajjulukuka kituleetera okwongera okumusiima (Zb 63:6; w19.12 lup. 28 ¶4; w15 10/15 lup. 24 ¶7)

Okusiima okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kituleetera okumutendereza n’essanyu (Zb 63:​4, 5; w09 7/15 lup. 16 ¶6)

KYE MUYINZA OKUKOLAKO MU KUSINZA KW’AMAKA: Mwogere ku ngeri Yakuwa gy’abalazeemu okwagala okutajjulukuka.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 64:3—Ebiri mu lunyiriri olwo bituleetera bitya okwagala okweyongera okwogera mu ngeri ezimba? (w07 12/1 lup. 30 ¶6)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 2) NNYUMBA KU NNYUMBA. Gw’obuulira tayogera lulimi lwo. (lmd essomo 3 akatundu 4)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 2) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Emboozi ekoma nga tonnaba kumuwa bujulirwa. (lmd essomo 2 akatundu 4)

6. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Gezaako okumanya ekyo ekinaakwata ku muntu, era okole enteekateeka okumuyamba okumanya ebisingawo. (lmd essomo 1 akatundu 5)

7. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 4) Okulaga Ekyokulabirako. ijwfq-E 51—Omutwe: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Baddamu ne Babuulira Abantu Ababa Baabagamba Nti Tebaagala Bubaka Bwabwe? (lmd essomo 4 akatundu 3)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 154

8. Engeri Gye Tukiraga Nti Twagala Katonda

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Yakuwa “alina okwagala kungi okutajjulukuka.” (Zb 86:15) Ebigambo “okwagala okutajjulukuka” bitegeeza okwagala okuva mu kuba omumalirivu, okunywerera ku muntu, okuba omwesigwa gy’ali n’obutamwabulira. Wadde nga Yakuwa alaga abantu bonna okwagala, abaweereza be abalina enkolagana ey’oku lusegere naye, bo abalaga “okwagala okutajjulukuka”. (Zb 33:18; 63:3; Yok 3:16; Bik 14:17) Tusobola okukiraga nti tusiima okwagala okutajjulukuka Yakuwa kw’atulaga nga naffe tumwagala. Mu ngeri ki? Nga tugondera ebiragiro bye nga mw’otwalidde n’ekyo ‘eky’okufuula abantu abayigirizwa.’—Mat 28:19; 1Yo 5:3.

Mulabe VIDIYO Weeyongere Okwoleka Okwagala mu Buweereza. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

Okwagala kunaatuleetera kutya okubuulira amawulire amalungi nga,

  • tukooye?

  • tuyigganyizibwa?

  • tukola emirimu gyaffe egya bulijjo?

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt Sul. 12 ¶14-20

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 79 n’Okusaba