Jjulaayi 22-28
ZABBULI 66-68
Oluyimba 7 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Yakuwa Yeetikka Emigugu Gyaffe
(Ddak. 10)
Yakuwa awulira essaala zaffe era aziddamu (Zb 66:19; w23.05 lup. 12 ¶15)
Yakuwa afaayo ku byetaago bya bannamwandu n’abo abatalina bakitaabwe (Zb 68:5; w11 1/1 lup. 22 ¶6; w09 7/1 lup. 32 ¶1)
Yakuwa atuyamba buli lunaku (Zb 68:19; w23.01 lup. 19 ¶17)
EKY’OKULOWOOZAAKO: Tukkiriza tutya Yakuwa okwetikka emigugu gyaffe?
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 68:18—Mu kiseera kya Isirayiri ey’edda, ‘ebirabo mu bantu’ baali baani? (w06 7/1 lup. 10 ¶5)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 66:1-20 (th essomo 11)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Eggwanga ly’oyo gw’obuulira lya njawulo ku liryo. (lmd essomo 5 akatundu 3)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Weeyongere okukubaganya naye ebirowoozo ku tulakiti gye wamulekera. (lmd essomo 9 akatundu 3)
6. Okufuula Abantu Abayigirizwa
(Ddak. 5) lff essomo 15 ennyanjula n’akatundu 1-3 (th essomo 8)
Oluyimba 102
7. Osobola Okuwewula ku Mugugu Omuntu gw’Alina?
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Tewali muweereza wa Yakuwa n’omu ayolekagana n’ebizibu n’atafuna buyambi. (2By 20:15; Zb 127:1) Yakuwa atuyamba. (Is 41:10) Ezimu ku ngeri Yakuwa z’akozesa okutuyamba ze ziruwa? Atuwa obulagirizi ng’akozesa Bayibuli n’ekibiina kye. (Is 48:17) Atuwa omwoyo gwe omutukuvu, ogw’amaanyi ennyo. (Luk 11:13) Ate era akozesa bakkiriza bannaffe okutuzzaamu amaanyi n’okutuyamba. (2Ko 7:6) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa asobola okukozesa omuntu yenna ku ffe okuwewula ku mugugu gwa mukkiriza munnaffe.
Mulabe VIDIYO Weeyongere Okwoleka Okwagala mu Kibiina —Eri Abakaddiye. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Kiki ky’oyinza okukola okuwewula ku mugugu gwa mukkiririza munnaffe akaddiye?
Mulabe VIDIYO Weeyongere Okwoleka Okwagala mu Kibiina —Eri Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Kiki ky’oyinza okukola okuwewula ku mugugu gwa mukkiriza munnaffe ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna?
Mulabe VIDIYO Weeyongere Okwoleka Okwagala mu Kibiina —Eri Abagwira. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Kiki ky’oyinza okukola okuwewula ku mugugu gw’abo aboolekagana n’ekizibu?