Jjulaayi 29–Agusito 4
ZABBULI 69
Oluyimba 13 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Engeri Zabbuli 69 Gye Yayogera ku Ebyo Ebyandibaddewo mu Bulamu Bwa Yesu
(Ddak. 10)
Yesu yakyayibwa awatali nsonga (Zb 69:4; Yok 15:24, 25; w11 8/15 lup. 11 ¶17)
Yesu yayagala nnyo ennyumba ya Yakuwa (Zb 69:9; Yok 2:13-17; w10 12/15 lup. 8 ¶7-8)
Yesu yafuna obulumi ku mutima era yaweebwa envinnyo etabuddwamu ebintu ebikaawa (Zb 69:20, 21; Mat 27:34; Luk 22:44; Yok 19:34; g95-E 10/22 lup. 31 ¶4; it-2-E lup. 650)
EKY’OKULOWOOZAAKO: Lwaki Yakuwa yateeka mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya obunnabbi obukwata ku Masiya?
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 69:30, 31—Ennyiriri ezo ziyinza zitya okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tusabamu? (w99 2/1 lup. 16 ¶11)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 69:1-25 (th essomo 2)
4. Beera Mugumiikiriza—Ekyo Yesu Kye Yakola
(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku lmd essomo 8 akatundu 1-2.
5. Beera Mugumiikiriza—Koppa Yesu
(Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo lmd essomo 8 akatundu 3-5 ne “Laba Ne.”
Oluyimba 134
6. Ebyetaago by’Ekibiina
(Ddak. 5)
7. Ebisobola Okubayamba mu Kusinza Kwammwe okw’Amaka
(Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo.
Mu Jjanwali 2009, Olukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina lwagattibwa n’olw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’olw’Obuweereza ne tuba nga tufuna olukuŋŋaana lumu wakati mu wiiki. Kino kyakolebwa okusobozesa amaka Amakristaayo okweteerawo akawungeezi ak’okusinziza awamu ng’amaka buli wiiki. Bangi basiimye enteekateeka eno eyakolebwa kubanga ebasobozesa okwongera okusembera Yakuwa n’okunyweza enkolagana yaabwe ng’amaka.—Ma 6:6, 7.
Bintu ki ebimu ebiyinza okuyamba emitwe gy’amaka okuteekateeka obulungi okusinza kw’amaka, ab’omu maka ne bakuganyulwamu era ne bakunyumirwa?
-
Mubenga nakwo obutayosa. Bwe kiba kisoboka, musseewo olunaku buli wiiki olunaabeerangako okusinza kw’amaka. Singa ekintu kigwawo ku lunaku olwo, ssaawo olunaku olulala kwe munaafunira okusinza kw’amaka
-
Teekateeka. Weebuuze ku mukyala wo ku bye musobola okukola mu kusinza kw’amaka era oluusi n’oluusi buuza abaana bo bye bandyagadde bibeere mu kusinza kw’amaka. Tekyetaagisa kumala budde bungi ng’oteekateeka naddala singa ebimu ku ebyo ab’omu maka go bye baagala bibeere mu kusinza kw’amaka mutera okubikola buli wiiki
-
Tuukanya okusinza kw’amaka n’embeera y’ab’omu maka go. Abaana bwe bagenda bakula, ebyetaago byabwe n’obusobozi bwabwe bikyuka. Okusinza kw’amaka kusaanidde okuyamba buli omu mu maka okukula mu by’omwoyo
-
Teekawo embeera ennungi. Oluusi okusinza kw’amaka muyinza okukufunira wabweru, embeera y’obudde bw’eba ennungi. Muyinza n’okuwummulamuko bwe kiba kyetaagisa. Wadde nga kirungi okwogera ku bizibu bye mulina mu maka, ekiseera ky’okusinza kw’amaka tokikozesa kunenya ba mu maka go oba kubakangavvula
-
Mukyusekyuseemu. Ng’ekyokulabirako, muyinza okuteekateeka ekimu ku bitundu ebinaabeera mu nkuŋŋaana, muyinza okulabayo vidiyo emu ku jw.org oluvannyuma ne mugikubaganyaako ebirowoozo, oba ne mwegezaamu bye munaayogera nga mugenze okubuulira. Wadde ng’okusingira ddala mu kusinza kw’amaka tusaanidde kukubaganya birowoozo, muyinza n’okuteekawo akaseera buli omu mu maka ne yeesomesa
Buuza abakuwuliriza ekibuuzo:
-
Mugezezzaako mutya okukolera ku magezi ago agatuweereddwa mu kusinza kwammwe okw’amaka?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 13 ¶8-16, akasanduuko ku lup. 119