Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjulaayi 8-14

ZABBULI 60-62

Jjulaayi 8-14

Oluyimba 2 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Yakuwa Atuwa Obukuumi n’Obutebenkevu

(Ddak. 10)

Yakuwa alinga omunaala (Zb 61:3; it-2-E lup. 1118 ¶7)

Yakuwa atukkiriza okubeera mu weema ye (Zb 61:4; it-2-E lup. 1084 ¶8)

Yakuwa alinga olwazi (Zb 62:2; w02 5/1 lup. 10 ¶14)


WEEBUUZE, ‘Obulamu bwange bulongoose butya olw’okumanya Yakuwa n’okumwesiga?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 62:11—Mu ngeri ki Katonda gy’ali “nnannyini maanyi”? (w06 7/1 11 ¶6)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Tandika okunyumya n’omuntu akukoledde ekintu eky’ekisa. (lmd essomo 2 akatundu 3)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Buulira omuntu ku app yaffe eya JW Library®, era omulage engeri y’okugiwanula. (lmd essomo 7 akatundu 4)

6. Okwogera

(Ddak. 5) w22.02 lup. 4-5 ¶7-10—Omutwe: Weesige Yakuwa ng’Oweereddwa Obulagirizi. (th essomo 20)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 12

7. “Tewali Kiyinza Kutwawukanya ku Kwagala kwa Katonda”

(Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo.

Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Yakuwa yalabirira atya ow’oluganda Nyirenda bwe yali ng’ayigganyizibwa?

8. Beera Mukwano gwa Yakuwa—By’olina Okukola Okusobola Okutuuka ku Kubatizibwa

(Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma bwe kiba kisoboka, yita abaana be wateeseteese bajje ku siteegi obabuuze ebibuuzo bino: Bw’oba ogenda kubatizibwa, kintu ki ky’osaanidde okulowozaako okusinga emyaka? Ebimu ku ebyo by’osaanidde okutuukiriza okusobola okubatizibwa bye biruwa?

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 63 n’Okusaba