Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
ZUUKUKA!
By’oyinza okwogera: Akatabo kano koogera ku nsonga enkulu ennyo! [Muwe magazini.]
Ekibuuzo: Obadde okimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa bavvuunula ebitabo mu nnimi ezisukka mu 750?
Ekyawandiikibwa: Kub 14:6
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Olowooza amagezi gano gasobola okuyamba abafumbo singa baba balina ensonga gye baagala okwogerako?
Ekyawandiikibwa: Yak 1:19
By’oyinza okwogera: [Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.] Ekitundu kino kirimu ebyawandiikibwa ebirala ebikwata ku nsonga eyo.
TULAKITI
Ekibuuzo: Nkusaba weetegereze ekibuuzo kino. [Soma ekibuuzo ekiri kungulu ku tulakiti.] Ggwe olowooza otya?
kyawandiikibwa: [Kiri ku lupapula 2 olwa tulakiti]
By’oyinza okwogera: Akapapula kano kannyonnyola engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kiyinza okukuganyulamu.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.