Jjuuni 6-12
ZABBULI 34-37
Oluyimba 95 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Weesige Yakuwa Okolenga Ebirungi”: (Ddak. 10)
Zb 37:1, 2—Ebirowoozo byo bimalire ku kuweereza Yakuwa, so si ku bantu ababi abalabika ng’abali obulungi (w03 12/1 22-23 ¶3-6)
Zb 37:3-6—Weesige Yakuwa, okole ebirungi, oweebwe emikisa (w03 12/1 23-25 ¶7-15)
Zb 37:7-11—Lindirira n’obugumiikiriza okutuusa Yakuwa lw’anaggyawo ababi (w03 12/1 13 25-26 ¶16-20)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zb 34:18—Yakuwa ayamba atya abo abalina “omutima ogumenyese” n’abo abalina “omwoyo oguboneredde”? (w11 7/1 23)
Zb 34:20—Obunnabbi buno bwatuukirizibwa butya ku Yesu? (w13 12/15 21 ¶19)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 35:19–36:12
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo. Kubiriza ababuulizi okutegeka ennyanjula zaabwe.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 93
“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Okusobola okunnyonnyola ensonga eziri wansi w’ekitundu ekirina omtwe, “Engeri y’Okukikolamu,” musseeko vidiyo eri omutwe, Bayibuli Yava Wa? eri ku mukutu jw.org/lg (Genda ku EBITABO > EBITABO N’OBUTABO. Oluvannyuma genda ku brocuwa Amawulire Amalungi. Vidiyo eri wansi w’essomo eririna omutwe, “Ddala Amawulire Amalungi Gava eri Katonda?”)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak.30) ia sul. 17 ¶1-13
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 61 n’Okusaba